Micah 4:9-10


9 aNaye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo?
Temulina kabaka abakulembera?
Omuwi w’amagezi wammwe yafa,
ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
10 bLumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni
ng’omukazi alumwa okuzaala.
Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga
ogende obeere ku ttale.
Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni,
era eyo gye ndibalokolera.
Ndibanunulira eyo
okuva mu mukono gw’omulabe.
Copyright information for LugEEEE